Muhammad Kanatta bamutegekedde Duwa emusiibula
Aba famire ya Muhammad Kanatta, omutuuze w'e Mukono eyawambibwa ab'ebyokwerinda mu December wa 2020, basazeewo okutegeka Dduwa okumusaalira oluvannyuma lw'essuubi eririddamu okumulaba nga mulamu okukeewa. Bano bategezeezza nga bwe batubidde n'abaana ba Kanatta 16 beyaleka ng’abakyala balaze okunyolwa olw'ennaku gye bayitamu okwebezaawo n'abaana baabwe. Dduwa eno yeetabiddwako bannakibiina ki NUP nga bakulemberwamu akulira oludda oluvuganya Joel Ssenyonyi,nga bakalambidde nti baakusigala nga babanja abantu baabwe.