Okukuuma obutonde; eccupa ezaatika zettaniddwa nnyo
Eccupa za plastic zimaze ebbanga eriwera nga zezeeyambisibwa mu kutereka amazzi n'ebyokunywa ebirala ebiweweeza, nga n'ebifo ebisanyukirwamu bingi tebikaluubirizibwa kubitunda. Kyokka plastic ono gy'akomye okweyambisibwa, n'okwonoona obutonde bw'ensi erabw'otunulatunula mu myaka mingi mu kibuga Kampala, mujjudde plastic olw'enkwata embi okuva mu bantu.Kaakati ebifo ebigendamu abantu nga wooteeri n'ebirala, bitandise okwesambira ddala ebintu bya plastic nga kati amazzi baatandise kugapakira mu ccupa ezaatika. Olwaleero twagala okukutegeeza engeri kino gye kiyinza okutasaamu obutonde bw'ensi.