AWATUUKIRA ABABUNDABUNDA: Ekifo ky’e Kiryandongo kirimu omujjuzo, abakiddukanya basobeddwa
Abaddukanya ekifo awatuukira 'ababundabunda e Kiryandongo batandise okulaluubirirwa okulabirira abanoonyi b'obubudamu abeeyongera buli lukya olw'ebbula ly'ensimbi. Ekifo kino kisobola okulabirira abantu ebikumi bisatu mu nsanvu bokka wabula olw'okweyongera kw'ababundabunda okuva e Sudan omuwendo guno gweyongedde okutuuka kumpi ku bantu lukumi. Waliwo okutya nti embeera yandisajjuka singa tewabaawo kikolebwa mu bwangu.