Azadde abaana mukaaga lumu! bba asanyuse n’asuubiza okubalabirira
Mu kibuga ky’e Mbarara waliwo omukyala akubyeewo ezadde lya baana mukaaga nga bonna balamu bulungi. Maama wa baana bano Glorious Betonda agamba nti olwobuzito bwabadde nabo abadde akeera kutuula butuuzi okuva olubuto bwerwaweza emyezi etaano. Abasawo bagamba nti abaana tebalina kibaluma kyonna.