Ba wannyondo ba kkooti batutte Muhammed Kamoga ow’ettaka mu kkooti lwa bufere
Omusuubuzi w'e ttaka Muhammad Kamoga awonye okusula mu kkomera , Kooti enkulu ekiwayi ekikola ku by'ettaka bwemuwadde akadde agende anoonye ebyapa 40 okuli enkayana abireete mu sabiiti emu yokka. Okutuuka mu kkooti kamoga asoose kukwatibwa bawanyondo ba kooti ne bamusimba mu maaso g'omuwandiisi wa kooti Christine Namutebi nga bamulanga kugaana kugondera nsala ya kooti eyaliwo emyaka etaano e mabega bweyakkiriza okuleeta ebyapa bye ttaka 45 lyeyayawulamu e Garuga -Bugabo- Wakiso District . Ekitaasiza kamoga ye Munamateeka we Moses Karungi okusaba omulamuzi amuwe akadde ebyapa okuli e mbiranye abireete mu bbanga lya wiiki emu.