Bannayugana abali e Congo boogedde ku mbeera mwe bali
Mu kibuga Kinshasa agavaayo galaga nga embeera bw'ekedde nga ya kimpowooze , oluvanyuma lw'abatuuze okwekalakaasa olunaku lw'eggulo ne bakola n'obulabe ku bitebe by'amawanga ebiwerako okuli ne kya Uganda. Bannayuganda abali mu ggwanga lino batubuulidde nti abamu baggudewo amaduuka gaabwe, kyoka nga abantu batono mu kibuga. Yo mu Goma okulwanagana kukyawulirwa ku njegoyego ze kibiga kino wakati wabateekera ba M23 n'amaggye ga gavumenti.