Basatu bafu mu muyaga e Kalangala, ekitebe kya poliisi kisaanyiziddwawo
Abantu basantu okubadde n'owa police bafiiriddewo mu njega ebaddewo kumakya g'olwaleero mu district y'e Kalangala oluvannyuma lw'empewo eyamaanyi abangi gye baakazaako Ensoke okusaanyawo amayumba. Poliisi ekakasizza abantu 3 abafiiriddewo okubadde n'omusirikale waayo n'abantu 13 abafunye ebisago nga baddusiddwa mu malwaliro okujjanjabwa.