Bibiino ebimu ku bisomoozezza Kabaka Muwenda Mutebi mu myaka 70
Abamanyi ebyafaayo batenderezza obuvumu Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwayolesezza okuva obuto bwe n’asobola okulamula obulungi wakati mukusoomozebwa kwazze ayitamu ng’akula okutuusa olwaleero kyokka n’asobola okubaako enkulaakulana gy’agasse ku bwakabaka be. Mukusoomozebwa kuno Kaliko okufiirwa kitaawe Ssekabaka Muteesa II nga bombi bali mu buwanganguse, saako n’omuyaga oguzze gutomera obwakaba bwe kyokka byonna asobodde okubitebuka n’aweza emyaka 31 ng’alamula. Obuganda ate katondo n’amuwa ekirabo eky’obulamu n’asobola okuweza emyaka 70 egy’okuyuguuma. Katulabe okumu kukusoomozebwa okubadde mu bulamu bwa Kabaka Mutebi okuva obuto bwe okutuusa olwaleero.