Byolina okumanya ku kwetukuta kw’omusaayi | OBULAMU TOOKE
Omusaayi okukwata oba okwetukuta kiyite “Blood clot”, bwebumu ku bulwadde obw’obulabe kyoka nga bangi ku babufuna balwawo okumanya okukakkana nga baluguzemu obulamu. Ekyewunyisa ate abasawo bagamba nti okukwata kw’omusaayi kuno kwa mugaso eri obulamu bw’abantu. Twogeddeko n’abasawo abakugu okutunnyonnyola ekiviirako omusaayi guno okwetukuta n’engeri gy’oyinza okukuvvuunuka.