EMPAKA Z’OKUBAKA: Liigi y’eggwanga ezzeemu okutojjera olwaleero
Liigi y’eggwanga ey’okubaka egidwaako akawuwo olunaku lwaleero mu kisawe e Nakivubo oluvanyuma lw’emyaka ebiri nga yayimirizibwa. Mugigguddewo liigi olwaleero, UCU ekubye Dynamite goolo 52 ku 35, UPDF n’ekuba UGISHA goolo 46 ku 43 ate KCCA n’ekuba NIC goolo 40 ku 39. Aba kcca bagamba nti kati bakwongereza ku buwanguzi buno okulaba nga bawangula liigi y’omwaka guno so nga ate NIC batubulide nti ekigwo ekimu tekirobera mwana kuzannya.