OKULONDA MU NRM: Tanga Odoi akubye ttooki mu ngeri gye bigenda okutambula
Enteekateeka z'okulonda mu NRM zaakutandika ku nkomerero y'omwezi guno ng'abeegwanyiza ebifo ebyenjawulo bajjayo empapula n'oluvannyuma okulonda kutandike mu bbanga erinaddako. Enteekateeka eno erindiridde mukulembeze w'eggwanga eryoke efulumizibwe mu butongole. Akulira ebyokulonda mu NRM Tanga Odoi, aliko byatangaazizza ku nteekateeka eno.