Waliwo abaagala poliisi enoonyereze ku kkoobaane ly’okubba kompyuta z’abaliko obulemu
Obubbi bwa kompyuta mu masomero g’abaliko obulemu mu bitundu ebitali bimu bwongedde okweraliikiriza abagaddukanya nga kati baagala poliisi ekole okunoonyereza okumala okuzuula ababuli emabega. Abaddukanya essomero lya St. Francis primary school for the blind erisangibwa e Soroti be bakasembayo okubbibwako kompyuta ez'abaweebwa kkampuni ya MTN mu gw'okubiri omwaka guno wabula nga negyebuli eno tebannafuna kiva ku Poliisi. Singa tewaba kikolebwa kukoma ku muze guno abaana abaliko obulemu bandiviiramu awo bwekituuka ku kuyiga enkozesa ya Kompyuta.