Enkuba e Kyenjojo eyonoonye ebirime n’amayumba, abaayo basobeddwa
Abantu okuva mu maka agasukka mu 150 mu tawuni kanso ye Kyarusozi mu disitulikiti ye Kyenjojo ge bakaaba ge bakomba oluvannyuma lw'enkuba eyamaanyi okuleka ennyumba zaabwe ku ttaka n'okubonoonera ebirime. Abakulembeze mu kitundu kino kati baagala gavumenti ebeeko engeri gyeduukirira abantu baabwe okuyita mu kubawa ensigo basobole okuddamu okusiga.