DR MATHEW KIRABO: Kkooti emukalize emyaka 30 lwa kutta muganzi we
Mathew Kirabo omuvubuka abadde avunaanibwa ogw'okutta muganzi we Desire Mirembe asibiddwa emyaka 30. Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono Henry Kaweesa y'atyemulidde Kirabo essango oluvannyuma lw'okuwuliriza omusango guno okumala ebbanga.Kirabbo yali yasingisibwa dda omusango guno wabula n'abulawo n'afuluma eggwanga wabula poliisi y'ensi yonna neddamu n'emukwatira e Kenya.