Eyakubwa essasi e Buyikwe, omusango gwe gwaggalwawo tategezeeddwako
Waliwo omukyala mu Ggombolola y’e Kyambogo mu district y’e Buikwe asula mu maziga olw’obulumi obumutuusizza n’okwagala okw’eggya mu bulamu bw’ensi eno oluvannyuma lw’essasi eryamukubwa ku mutwe mu mwaka gwa 2018 bwe yali mu nju ye nga yeebase. Omupoliisi ateeberezebwa okulimukuba, poliisi egamba waabulawo obujulizi obwenkukunala obumuvunaanyisa omusango era bwe kityo fayiro y’omusango ogwamuggulwako n’eggalwa. Omukyala ono awammanta kufuna bwenkanya naye bugaanye.