E Masaka poliisi ekutte basatu ababadde batambuza ebitundu by’omubiri
Poliisi eriko abantu basatu beekutte ku byekuusa ku kukukusa ebitundu by’omubiri mu Kitundu kye Masaka. Abasatu bano okukwatibwa kyaddiriddde akabokisi omwabadde ebitundu by’omubiri okugwa wakati mu luguudo mu katawuni k’ekijjabwemi ekyavuddeko abatuuze okwekengera. Abakwate kuliko omukuumi wa Kampuni ya SGA n’abasawo babiri mu mekebererezo ga Kampuni eyitibwa Lancet.