E Mityana abafumbo babiri kata babamize omusu
E Mityana Waliwo abafumbo ku kyalo Kabula mu division ye Tamu abatemeddwatemeddwa abantu abatamanyika mu kiro ekikeesezza leero kata babalemese okuyingira omwaka omujja.Ettemu lino lyabaddewo ku ssaawa nga satu n'ekitundu ez'ekiro ekikeesezza leero. Ekyennaku nti omwami muzibe era kyamuzibuwalidde okwetaasa kko n'okutaasa omukyala ku batemu bano.