Abalwadde mu ddwaliro e Iganga, bali mu kusoberwa olw’ebiku
Abalwadde mu ddwaliro e Iganga, bali mu kusoberwa olw’ebiku ebyazingako eddwaliro. Bagamba nti nga oggyeeko ebiku, n’ebyensula bikambwe anti basil ku butundutundu bwa mifaliso, ekiweewesa okuwona kwabwe. Wadde guli gutyo waliwo abazirakisa ababatonedde emifaliso okukyusa ku by’ensula.