E Kabarole waliwo abakungaanyizza ssente mu bwegassi
Olutalo lw’ebyenfuna ensangi buli omu alulwana bubwe.E Kabarole eyo, waliyo abantu 20 abaatandikawo okwesoloozangamu akasente akatonotono buli wiiki nebakawa omu kubbo wabula kati omuwendo gwabwe gutuuse ku bantu abasoba mu 400 nga mũ bbanga lya myaka kkumi baweza ensimbi ezisoba mu bukadde 200.Bano ekiruubirirwa kyakukola bbanka, era baagala gavumenti ebakwasizeeko.