Obunkenke mu kuyisa ebbago ly'emmwanyi
Nga ennaku z’omwezi 7 November w’omwaka 2024 lwali lwabyafaayo eri eggwanga oluvanyuma lwa palamenti okuyisa ebbago ly’etteeka ku mmwanyi okugatta ekitongole ki Uganda Coffee Dev’t Authority kiteekebwe mu minisitule y’eby’obulimi. Wabula kuno tekwali kunaanya nga n’ababaka abamu baasibira mu malwaliro olw’okulwanagana okwali mu lukiiko lw’eggwanga olukulu.