Nabbanja alagidde famile z’abantu abasoba mu kikumi abagobwa ku ttaka badde ku ttaka lyabwe
Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja alagidde famile z’abantu abasoba mu kikumi abagobwa ku ttaka ku kyalo kijumba mu ggombolola ye Kiyuni mu disitulikiti ye Mubende badde ku ttaka lyabwe. Kino kidiridde Ssabaminisita Nabbanja okutuuka ku ttaka lino erisoba mu yiika 120 abantu bano kwebabadde bawangalira nasanga nga namayumba gabwe gaasanyizibwa munnamagye ali ku daala lya Col ategerekeseko erya Agaba.