E Namutumba tebarina weebayiwa kasasiro, abatuuze bagamba bali bubi
Abatuuze mu tawuni kanso ye Namutumba mu disitulikiti ey’e Namutumba beekubidde enduulu olwa kasasiro gwebagamba nti atuuse okubalwaza endwadde eziva ku bujama. Kitegerekese nti tawuni kanso eno terina kifo kya nkalakkalira weeyiwa kasasiro, songa ne loole eyali emutwala nayo yafa kati emyaka esatu egyakayita. Kati abatuuze basaba nti ensonga eno ekolebweko, kubanga boolekedde okulwala endwadde eziva ku buligo.