Ebbula ly’amasomero e Mubende liviiriddeko abawala okufumbirwa nga bato
Kizuulidwa ng’omuwendo gw’abaana abazaala nga tebaneetuka mu gombolola ye Kalonga mu district y’e Mubende bwe guli wagulu nga kino okusinga kiva ku bulagajjavu bw’abazadde, kko n’okubulwa masomero ga gavumenti aga siniya mu kitundu. Abazadde bagamba nti abaana abasinga na ddala abawala bwe batuuka mu kibiina eky’omusanvu nga bakoma, okukakkana nga bafumbiddwa, n’abalala okufunira embuto ku mpya za bazadde baabwe.