EBINNYA MU NGUUDO ZA KAMPALA : Lukwago agamba obuwumbi omukaaga kigumaaza
Ekitongole ki KCCA kigamba nti kisindise bayinginiya okuva mu divizioni ettaano ezikola Kampala okwekeneenya enguudo ezisinga okwetaaga okuzibikira ebinnya ebyeyongedde nga bisanyalaza eby’entambula. Kino kiddiridde omukulembeze w'eggwanga olunaku lw’egulo okulagira Minisitule y'ebyensimbi okuwaayo obuwumbi mukaaga eri KCCA mubunnambiro okusobola okutandika okuzibikira ebinnya ebiri mu nguudo za Kampala.
NTV kati okumala ekiseera ezze ekutusaako embeera y'enguudo embi mu Kampala .
Ye Loodi Meeya Erias Lukwago agamba ssente ezaweereddwayo kigumaaza nga ente esula ku kyoto.