Eby’omupoliisi eyattiddwa e Ibanda, 29 bakwatiddwa bayambeko mu kunoonyereza
Poliisi mu disitulikiti ye Ibanda etubuulidde nti ekutte abantu 29 ku byekuusa ku kuttibwa kw'omuserikale Sulaiman Chemonges eyabadde agenze okukuuma omukolo gw'okuziika omusajja eyafiiridde mu kkomera.Kigambibwa nti mu kuziika kuno, abatuuze abaatabadde bamativu na nfa ya muntu waabwe bakakanye ku Muserikale ono ne bamukuba emiggo egyamuttiddewo. Poliisi etubuulidde nti ekutte abantu 29 bagiyambeko okunonyereza abaakoze kino.