EBY’OMWANA EYAFIIRA E NSANGI: Jjaja we, eyali yadduka amaze n’akwatibwa poliisi
Nasiri Nanjwenge, omusajja aludde nga ayiggibwa poliisi y'e Nsangi mu district y'e Wakiso ku by'okuba mu lukwe lw'okutta muzzukulu we ow'emyaka 3.Omwana eyattibwa ye Rehema Namakula nga jjajaawe yamujja ku buko mutabani we gye yawasa n'ekigendererwa eky'okugenda okulya naye Eid.Amawulire agaakomawo gaali gabika mwana, wabula poliisi bwe yeekebejja omulambo, gwaliko ebiwundu era n'ekiteeberezebwa nti yasaddakiibwa-busaddaakibwa.