Ebikujjuko bya Ssekukkulu: Poliisi enywezezza eby’okwerinda, Balaam alabudde abavubuka
Poliisi etegeezezza nga bweyungudde basajja baayo okulaba ng'ebikujjuko bya Ssekukkulu bitambula mirembe. Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire agamba nti bongedde okumyumyula ebyokwerinda mu bitundu ebyenjawulo ne mu bifo awagenda okubeera ebivvulu. Minisita w'abavubuka n'abaana era nga yomu ku bategesi b'ebivvulu Balaam Barugahara asabye abavubuka obutasiiwuuka mpisa mu bikujjuko.