Ogw’okutta Tugume n’owa Boda :Kkooti esomedde bana egy’obutemu, basindikiddwa ku alimanda
Abantu bana basindikiddwa ku alimanda e Luzira oluvannyuma lw'okusomerwa emisango gy'okubba n'okutta Albert Cook Tugume eyali addukanya edduuka lya Mobile money e Kiwatule era nga muganda w'amyuka Loodi Meeya wa Kampala, Doreen Nyanjura. Abasindikiddwa ku alimanda kuliko Jimmy Mutagubya nga muvuzi wa Boda boda. Bosco Kayemba omuzimbi era nga mutuuze e Kawanda Nakyesanjje, Hamza Suuna omutuuze w'e Mpereerwe ne Marvin Makanga omutuuze w'e Maganjo. Okusinziira ku ludda oluwaabi nga 21 omwezi gwe kkuminoogumu omwaka guno, abana bano baalumba Tugume era nebamunyagako ensawo omwali omuwendo gwa ssete ogutamanyiddwa, n'ebyuma ebikozesebwa mu mulimu gwa Mobile Banking, n'oluvannyuma nebamukuba ebyasi.
Bano era beeyambisa emmundu yeemu okutta Barnabas Sabiiti omuvuzi wa Boda Boda. Kkooti ya City Hall ebadde ekubirizibwa omulamuzi w'eddaala erisooka Nicholas Aisu bano tebakkirizza kwewozaako kubanga omusango gwabwe gwa nnaggomola.
Omulamuzi abasindise ku alimanda e Luzira okutuusa nga 9 omwezi ogujja ng'okunoonyereza ku musango gwabwe bwekugenda mu maaso mpozi n'okuwa poliisi ekyanya okuyigga abantu abalala basatu abavunaanibwa mu musango guno okuli Hussein Kabuye , Joseph Babaidha ne Martin Lukenge abakyaliira ku nsiko.