Meeya Sserunjogi abagabudde ebya ssekukkulu
Meeya we gombolola ye Kawempe Emmanuel Sserunjogi asabye abantu abalina obusobozi, okudduukirira abaana abatalina mwasirizi naddala mu biseera bino ebya ssekukkulu.
Sserunjogi okwogera bino abadde mu bitundu by’e Katanga wano e Wandegeya gyasemberezza abaana abawangaalira mu Ghetto ku kijjulo eky’a ssekukkulu. Ono Agamba abaana bano balina okulowoozebwako mu geri eyenjawulo.