Mmotoka Z’empaka :Omuvuzi Gawaya yeetegekedde ezimalako omwaka 2024
Dereeva we motoka z’empaka Timothy Gawaya wakuyingira ensiike mu mpaka za Champions Sprint ezigenda okubera e Busiika ku Boxing Day nga anoonya buwanguzi nakwekubako nfunfu nga yetegekera sizoni y'omwaka gwa 2025. Ono amazze omwaka mulamba nga anyiga buwundu oluvanyuma lwa motoka ye okwelindigula ekigwo mu mpaka ezali e Hoima mu mwaka gwa 2023.