Eddwaliro lirimu enjatika: Ab’e Buvuma beemulugunyizza ku kirindiridde okutongozebwa
Waliwo abatuuze abawangalira ku Kizinga Nkata mu Disitulikiti y'e Buvuma abaagala gavumenti ekwate era evunaane eyaweebwa omulimu gw'okubazimbira eddwaliro, gwebalumiriza nti omulimu guno yagukola mu ngeri gadibengalye.Eddwaliro eryogerwako lye lya Nkata Health Centre III, wabula ng'ekizimbe mu kiseera kino kyazzeemu dda enjatika nga ne ceiling etandise okuvunda olwokuyitamu amazzi g'enkuba