EKIVVULU KYA NYEGENYEGE: Bannaddiini e Jinja bagamba kittattana Busoga
Abasumba b’abalokole okuva mu bendobendo ly'ebusoga bavuddeyo ne bavumirira ekivvulu kya Nyegenygee ekibeerawo buli mwezi gwa Museenene.
Bano bagamba nti ekivvulu kino kittatana ekifaananyi kya Busoga nga kale kisanidde okusaziibwamu .
Bano babadde baanukula omumyuuka wa saaabaminisita asooka era minisita w'ensonga z'omukaggo gwa East African community , Rebecca kadaga eyavaayo ku nkomerero y'omwezi oguwedde n’abasaba bannadiini okukomya okwogerera ekivvulu kino amafuukule. Kadaga agamba ekivvulu kino buli wekibeerawo kiyambako Busoga okwekolera ssente anti buli wooteri ebeera ejjuza abagenyi.