Embeera ya Masaba S.S e Sironko, ebibiina n’ennyumba z’abasomesa bigenda kugwa
Embeera y’essomero lya Masaba Senior Secondary mu disitulikiti y’e Sironko yeeraliikirizza abasomesa n’abazadde oluvanyuma lw’ebizimba okulabikamu ennyaafa nga kati bayizi n’abasomesa bawangalira mu mbeera ya bweraliikirivu.Bano kati bagamba singa gavumenti wamu n’abo abaasomerayo tebasitukiramu kuduukirira mbeera, ekizimba kyandisamba eddagala.Essomero lino lyatandikamu mwaka gwa 1952, era nga lyerimu kw’ago amasomero agasooka mu kitundu kino.