EMIKONO KU BA KAMIISONA: Ssekikubo akedde kunoonya mmeeza
Olwaleero omubaka wa palamenti akulembeddemu ekiteeso eky'okujja ba kamiisona bana ku bukulu obwo Theodore Ssekikubo atunudde ebikalu , bwasanze nga emeeza gyakozesa n’obutebe kwatuula ng’asolooza emikono nga teriiwo ekimujje mu mbeera. Ono alabiddwako ng’akuba amassimu ag’okumukumu okumanya ebituuse ku meeza ye, wabula agamba bino tebigenda kumuggya kumulamwa gwakusolooza mikono.Omubaka wa Munisipaali ye Bugiri Asuman Basalirwa, bano abawadde amagezi nti emikono tebalina kuginoonyeza wano wokka basobola n’okutuula mu woofisi zaabwe ne baperereza ababaka.