Emizannyo Gy’amasomero Ga Siniya:Omupiira gutuuse ku za kwoota
Amasomero okuli st Mary's Kitende, Buddo Ss ne Jinja Progressive Academy gayiseewo okwesogga oluzannya olukulembeera ezakamalirizo, semi finals mu mpaka za masomero ha siniya ez'omupiira eziyindira mu Ngora Okuyitawo St Mary's ewanduddemu Kibuli SS ne ggoolo 3-0 so nga yo Jinja Progressive ekubye Mentor SS ggoolo 1-0 Mu basketball w'abalenzi amasomero okuli St. Cyprian High School ne St. Mary's Kitende mu bawala geegakayitawo okwesogga oluzannya lwa Semi .