Ettemu E Masaka:Omusajja asozze mukazi we ebyambe
Poliisi mu kitundu ky'e Nyendo mu kibuga Masaka ekutte omusajja John Ndagazimana ow'emyaka 36 lwa kukakkana ku muganzi we Naume Uwigikundhire n'amufumita ebiso ebibuzeeko akatono okumutta. Kigambibwa nti ababiri bano baali baayawukana dda wabula omusajja na'wamba engoye ze n'essimu nti kyokka oluvannyuma yagenze ku poliisi ye Kaliiro n'asaba abaserikale bamumuyitire amuwe ebintu bye.
Ono Ndagazimaana baasisinkanye mu kkubo, natandika okumufita ebifo era batuuze bebatasiizza.