Msgr. Expedito Magembe aziikiddwa ku seminaliiyo y’e Kisubi
Rt. Rev. Munsenyooli Expedito Magembe abadde akulira Mount Sion Prayer Centre e Bukalango aziikidwa olwaleero ku seminaliiyo y'e Kisubi mu katabi mu district y'e Wakiso wakati mu miranga okuva mu bakkiriza. Abantu ab'enjawulo bamwogeddeko ng'omusajja abadde omwetowaze era ayagala Katonda we nga amuweerezza n'omutima gwe gwonna. Okuziika Magembe, kwetabiddwako abantu abatali bamu, omubadde abava mu nzikiriza y'ekkatuliki, gavumenti eaya wakati n'obwakabaka bwa Buganda.