Ogwa Nalukoola Ne Nambi ,kkooti ebawadde olunaku omusango lwe gutandika
Omulamuzi Bernard Namanya agenda okuwulira omusango munnakibiina ki NRM Faridah Nambi mwawakanyiza obuwanguzi bwa Elias Nalukoola mu kulonda kw’okuddibwamu okwali e Kawempe North asazeewo nti abajjulizi 10 bokka ku bajjulizi 31 Nambi baleese,bebagenda okubuuzibwa kajjojijoji w’ebibuuzo ku bujjulizi bwe bagenda okuwa.
Bannamateeka ba Nalukoola babadde basaba nti bonna abagenda okujjulira basimbibwe mu kaguli bakunyizibwe ku bye bagenda okwogera,kyoka bino omulamuzi ababigaanye, songa nokujjulira ku nsonga eno nakwo akugaanye. Omusango guno gutandika okuwulirwa mu bujjuvu olunaku olw’enkya.