Etteeka ku biyiiye likubiddwa mu kyapa kya gavumenti
Olunaku lw'enkya ebbago eriruubirira okukola ennongoosereza mu tteeka ly'ebiyiiye li Copyright and Neighbouring Rights Amendment lisuubirwa okusomebwa omulundi ogusooka mu palamenti. Etteeka lino liruubirira okuwa abayiiya enkizo ku biyiiye bwabwe okusobola okubifunamu ennyo. Ebbago lino gavumenti yalyeddiza okuva ku mubaka wa mawokota North Hillary Kiyaga eyali alireese ng'omuntu ssekinnooomu.