Allan Ssewannyana ne banne baguddwako emisango emipya
Allan Ssewanyana omubaka wa Makindye West n'abantu abalala bana, kati banditandika okuttunka n'emisango emipya, oluvannyuma lw'oludda oluwaabi okukyusa mu mpaaba yaabwe. Oludda oluwaabi nga lukulemberwamu Richard Birivumbuka, lutegezeezza omulamuzi Alice Komuhangi owa kkooti enkulu ewozesa egy'a nnaggomola nga bwe baggye omugenzi Muhammad Ssserigirinya ku lukalala lw'abantu bebabadde bavunaana nga kati basigazzaako bana. Ye Ssewanyana atereeddwako omusango omupya ogw'okuvujjirira obutujju.