OKULONDA KWA 2026: Ab’omukago gwa bulaaya basisinkanye aba NUP
Abakungu okuva mu mukago ggwa bulaaya bagamba nti nakati bakyali mu kutya olw’obuvuyo bwebaalaba mu kulonda. Olwembeera eno bano basisinkanye abakwatibwako ensonga mu byobufuzi bya uganda nga bano batandise n’abakulu mu kibiina ki National Unity Platform. Bagamba nti bwebalaba embeera,kigwana abakwatibwako ensonga bonna batuule bakkaanye ku ngeri y’okutangira okuyiwa omusaayi mu kulonda kwa 2026.