Ennyanja Nalubaale etabuse kati amazzi gaayo gafuuse kiragala
Wabaluseewo okutya mu bakulu abatwala eby'obutonde bw'ensi bwe kizuuse nti amazzi mu nnyanja Nalubaale, gatandise okukyusa laangi, okudda mu ya kiragala omukwafu. Embeera eno temanyiddwa kw'eva wabula abakulu kino bakisibye ku bantu abatafaayo kukuuma butonde bwa bwansi era nga balabudde buli gwekikwataako okulaba nga bafaayo. Kyokka bbo abantu abawangaalira ku nnyanja eno, kiragala oyo bamuyita MUBIRU nga bagamba nti kiva ku bbugumu wansi eyo erifukuuka.