ENSONGA Z’OMULAMUZI ESTHER KISAKYE: Ensonga z’omulamuzi Esther Kisakye ssaabawolereza amuzzeemu
Ssaabawolereza wa Gavumenti Kiryowa Kiwanuka asabye kkooti etaputa amatteeka okugoba okwemulugunya kw'omulamuzi wa kkooti ensukkulumu Easther Kisaakye. Kiryowa Kiwanuka ategeezezza nti ono y’omu ku Kaweefube w'omulamuzi Kisaakye okufutyanka okumunoonyerezaako olweneeyisaaye, omuli n'okwebuzaabuza ku mirimu. Kinajjukirwa nti omulamuzi Kisaakye bweyali awaabira abakulu mu ssiga eddamuzi omuli ne Ssaabalamuzi Alfonse Owinyi Dolo ng’abalanga okufutyanka eddembe lye, ne Ssaabawolereza wa Gavumenti naye yamuteekamu. Ssaabawolereza wa Gavumenti mu kwanukula ku kwemulugunya kuno okwatwalibw mu kkooti omulamuzi Kisakye, amulanze okuwawaabira abantu abakyamu omuli Ssaabalamuzi Owinyi Dolo , ateekerateekera essiga eddamuzi Pius Bigirimana , omuwandiisi wa kkooti omukulu Sarah Langa, saako akola ku nsonga z'abakozi Apophia Tumwine. Omulamuzi Kisakye bano yabalanga kulemera fayiro ezirimu emisango gyalina okuwuliriza neegyo gyeyasalawo omwali n'okuwakanya eky’okugaana Bobi Wine okwongerwa obudde okuwa obujulizi mu musango gw'ebyokulonda gweyatwla mu kkooti mu kalulu k’obwa pulezidenti akaggwa n’ebirala.