Etteeka liruddewo - Aba Red Cross beekubidde enduulu eri Sipiika
Ekitongole kya Red Cross kyekubiddde enduulu eri sipiika wa palamenti olw’omukulembeze weggwanga okulwawo okusa omukono kubbago erirambika enzirukanya yekitongole kino. Okutuuka okwekubira enduulu eri sipiika kivudde ku kulwawo kw'omukulembeze weggwanga okussa ku bbago lino yadde nga lyayisibwa Palamenti eyekkumi. Ssaabawandiisi w'ekitongole kino agamba nti embeera eno erina engeri gyekosezzamu emirimu gyekitongole kino.