EYASALAKO BBA OBUSAJJA YEETONZE: Agambye poliisi nti sitaani yeyamukema
Suzan Namuganza ow'emyaka 34, agambibwa okukakkana ku bba n'amulyebulako obusajja getufuna galaga nti akkirizza nti ddala ekikolobero kino yakikola. Ensonda zitubuulidde nti nga akunyizibwa poliisi, yabategezeezza nti yakemebwa sitaani okukola kye yakola nti era naye akyejjusa. Poliisi etubuulidde nti Namuganda bwe yadduka, alina mikwano gye ku kyalo Busana mu ggombolola ye Nabwigulu beyasigala ayogerezeganya nabo era nga bano poliisi beyeyaaymbisa okumutuukako. Namuganda yali addukidde ku kyalo Buwaga mu ggombolola ye Bulange mu district y'e Namutumba.