Eyawemula Museveni akaligiddwa emyaka ebiri mu nkomyo
Emmanuel Nabugodi olwaleero akitegedde nti waakwebaka mu kkomera okumala emyaka 2 n'emyezi 8 lwa kukozesa bubi mutimbagano nga avuma omukulembeze w'eggwanga lino.Ssabiiti ewedde ono kkooti esookerwako e Ntebe yamusingisa emisango gino era n'atulikira mu kkooti n'akaaba nga asaba ekisonyiwo ekyakutte ku mulamuzi Stella Amabilisi n'amuwa ekibonerezo ekisamuusamu.Abavuma omukulembeze w'eggwanga mu kkooti eno tebakyaggwamu, ng'olwaleero omulala ayitibwa Juma Musuuza eyeeyita Madubala naye aleeteddwa ku misango gy'egimu.