Ez’ebibiina by’obwegassi, ab’e Bukedi bambalidde abaazikumpanya
Abalimi abeegatttira mu kibiina ki North Bukedi Cooperative Union baagala olukiiko oluddukanya ekibiina kyabwe lunyonnyole ku nsimbi ezisoba mu buwumbi omunaana ezaali ez’okubaliyirira olw’okufiirizibwa olw’olutalo. Ssente ezoogerwako zaali zaabakosebwa olutalo olwaleeta gavumenti ya NRM mu buyinza wabula nga zaali zaakuyisibwa mu bibiina by'obwegassi oba cooperatives.