Fahad Kayondo yagaaniddwa okusunsulibwa
Abakulu mu kibiina ki Uganda Federal Alliance benyamivu n’engeri omuntu gwebaabade bawawadde kaadi okwesimbawo ku lwekibiina mu kulonda kwa kawempe North Fahad Kayondo gyeyagaaniddwa okusunsulibwa. Tukitegedde nti kino kyavudde ku nkayana mu kibiina omu ku bannakibiina kino Johnbosco Mugasira eyali ssabawandiisi okutegeeza abakulira akakiiko nti ye tamanyi Fahad nga munnakibiina. Kyoka abakulira ekibiina kino abaggya bagamba nti Rugasira eyaleese emitawaana bamujjako dda obuyinza.