Omusana ogwememula: gulemesezza abayizi okugenda ku masomero
Ab'ebyenjigiriza n'abasawo mu disitulikiti ye Nabilatuk, batubuulidde nga okusoma kw'abayizi bwekutandise okutataagana, nga kino kivudde ku bbumu erisukkiridde. Bano bagamba nti enkuba erudde nga tekyatonya ekiviiriddeko ebumu lyebatalabangako, okukakana nga abayizi batandise okufuna endwadde ezekuusaku bbugumu, kko n'okukonziba.Embeera eno etandise n'okukosa okusoma kwabwe.