Omusajja eyeeyokyeza ku palamenti: abantu be bogedde obuzibu we bwava
Bazadde b'omuvubuka Bwinomugisha Benjamin eyeekumako omuliro ku palamenti ku lw'okubiri lwa sabiiti eno batubuulidde nti ekyamujja mu mbeera kyekuusa ku nsimbi enyinji zeyateeka mu kibiina ki NRM kyoka natajjukirwa . Bagamba nti mutabani waabwe yalina ku nsimbi, kyoka mbu neyeewola okuyiiya oluyimba olusuuta ekibiina ki NRM , kyoka yabulwa omusiima, abaamuwola ensimbi ne batwala buli kikye. Abakulira NRM e Gomba batubuulidde nti okwemulugunya kwomuvubuka ono baludde nga bakumanyiiko.